Obwakabaka bwa Buganda buwabudde government ku nkola etali nungamu era etali ya bwenkanya eyitibwamu okusolooza omusolo, ate negutaganyula bantu abangi abasinga okuguwa.
Ebibalo byÉkitongole ekiwooza ky’omusolo ki Uganda Revenue Authority biraga nti district okuli Kampala, Wakiso , Mukono ne Masaka zeezimu ku district ezisinga okuvaamu omusolo omungi ogubezaawo eggwanga, kyokka nezitafuna buweereza busanye obuja mu musolo gwezisasula.
Bwabadde ayogerako eri abantu ba Kabaka mu lukiiko lwa Buganda olutuddemu Bulange e Mengo nga lukubirizibwa Owek Patrick Luwagga Mugumbule, Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga alabudde government ku nkola etaliimu bwenkanya mu buweereza, gyagambye nti yeviirako abawi b’omusolo obutabeera bamativu.
Katikkiro avumiridde enkwasisa yámateeka mu kusolooza omusolo etaliimu bwenkanya kko n’enguzi eyitiridde mu bamu ku bakozi mu kitongole kino, gyagambye nti esaanye yeekeneenyezebwe era erondoolwe abagirya bakangavvulwe.
Ebyo nga bikyali bityo Katikkiro awabudde ministry yÉbyenjigiriza eyongere okussa essira ku bya Tekinologiya, Eby’obulimi nébyafaayo mu nsomesa empya egenda mu maaso mu masomero okwetoloola eggwanga, kyagambye nti kyakuyambako abaana okukula nga bayiiya nnyo.
Mu lutuula luno mubaddemu nSsabawolereza wÓbwakabaka Owek Christopher Bwanika ng’akiikiriddwa minister wébizimbe nÉttaka mu Bwakabaka Owek. David FK Mpanga akulembeddemu okulayiza abaami b’amasaza abaggya Ssaabasajja beyasiimye bamuweereze.
Abaami abakubye ebirayiro kubaddeko Mukwenda owe Ssingo Owek Deo Kagimu, Owek Vincent Matovu Ssekiboobo, Owek Sarah Nannono Kaweesi Katambala, Owek Fred Mugabi Kitunzi e Gomba, Owek Andrew Ssempijja Mukasa Luweekula, Owek John Kankaka Muteesa owe Mawogola, Owek Isreal Lubega Maaso Kasujju, Owek Samuel Ssemugooma Mugerere ne Owek Robert Ssonko Kimbugwe e Buluuli.
Olukiiko luno lwetabiddwamu ba minister ba Ssaabasajja bonna, Abaami bÁmasaza, Abámagombola abémiruka ,abavubuka ba Baganda Nkobazambogo abakulembeddwaamu ssente waabwe mu ggwaAdrian Lubyaayi, ababaka mu lukiiko lw’eggwanga olukulu nábantu abalala bangi.
Bisakiddwa: Kato Denis