Police etandise okuyigga omusajja ateeberezebwa okutta mukazi we ku kyalo ssekanyonyi mu district ye Mityana, ng’amuteebereza okubaako omusajja omulala gwapepeya naye.
Kiteberezebwa nti Kasonko Erinesto yatemudde mukyalawe, era abatuuze bebagudde ku mulambo ,nebatemya ku police etuuse mu bwangu mu kitundu netandikirawo omuyiggo gw’omusajja.
Abatuuze abakedde okulaba omulambo gw’omukyaala ono bagamba nti abafumbo bano baludde ebbanga nga bayombagana olutatadde.
Kigambibwa ku mulundi guno omukazi yavudde ewaka n’agenda ku ssomero ly’omwana wabwe okunonayo alipoota, bweyakomyewo awaka omusajja n’ateebereza nti yabadde ava mu bwenzi.
Ettemu lye limu libadde ku kyalo Kikoota mu district ye Kalungu, kigambibwa nti omusajja Kanyike God agenze ne mukazi we Sarah Nalunga mu bbaala nebanywamu ku mwenge, bwebaamaze nebadda ewaka.
Wabula ssentebe w’ekitundu Lugyemandiizi Swaibu alabidde awo ku makya ng’omusajja amuyita nti amuyambeko okuddusa mukazi we mu ddwaliro, wabula ssentebe agenze okutuuka neyekengera nti omukazi yandiba omufu nga yenna ajjudde enkwagulo z’emiggo ku mikono.
Ssentebe bwagezezaako okumubuuza ebisingawo, omusajja naakwata ejjambiya n’omuguwa neyemulula naabulawo.
ssentebe agambye nti omwana gwebabadde babeera naye abategeezezza nti bazadde be baasoose kulwana ekiro.#