Parliament eyisizza ennoongosereza mu tteeka erifuga ekitongole ekirunganya entambuza y’emirimu mu bitongole by’obwannakyewa ki NGO Bureau, obuvunaanyizibwa bwakyo butwaliddwa mu ministry y’ensonga zomunda mu ggwanga.
Parliament ekaanyizza n’okusaba kwa government okuggyawo ekitongole kino , okukendeeza ku nsaasaanya ya government.
Wabula ababaka ku kakiiko ka parliament akalondoola ensonga zomunda mu ggwanga akabadde kekeneenya ennongosereza mu tteeka eryayanjulwa government okuggyawo ekitongole ekyo, tebaasoose kukaanya era banjudde aliooota bbiri ezikontana, emu ng’ewagira ekyokugyawo ekitongole ki NGO Bureau kigyibwewo, songa waliwo endala eyanjuddwa omubaka Donozio Kahobda ebadde ewakanya ekyokugyawo ekitongole ekyo.
Gyebigweeredde nga parliament esazeewo ekitongole kiveewo, obuvunanyizibwa bwakyo butwalibwe mu ministry y’ensonga zomunda mu ggwanga.
Parliament yeemu era eyisiza ennongosereza mu tteeka eryasaawo ekitongole Ki The National Library kino nga kyekivunanyizibwa ku materekero g’ebitabo gonna mu ggwanga.
Ekitongole kino parliament esazeewo kiveewo, obuvunanyizibwa bwakyo butwalibwe mu ministry yebyenjigiriza
Ssentebe w’akakiko ka parliament akalondoola ebyenjigiriza n’emizannyo John Twesigye bwabadde ayanjulira parliament alipoota eyavudde mu kwekeneenya ebbago governmt lyeyayanjula okuggyawo ekitongole kino ,agambye nti okugyawo ekitongole kino obuvunanyizibwa nebutwalibwa mu ministry yebyenjigiriza, government egenda kufissa akawumbi ka shs 1 n’obukadde 280 zebadde esaasaanya okusasula emisaala gy’abakozi buli mwaka.
Bisakiddwa: Ssebuliba Julius