Ekibiina kya FDC ettabi erituula ku Katonga road litandise ku nteekateeka y’okutondawo ekibiina ekiggya.
Abakulira ettabi lino bagamba nti oluvannyuma lwókutalaaga ebitundu by’aggwanga ebitali bimu, banna kibiina kino babasabye nti batandiike ekibiina bave mu FDC
Ssabawandiisi wékibiina kya FDC oludda lwa Katonga Harold Kaija agambye nti babauzaayo kugenda mu bitundu bye Ggulu babeebuzeeko ku nsonga eno, n’oluvannyuma basalewo ekiddako.
Kaija agambye nti nga 15 May,2024 ogwókutaano abakulembeze békibiina kya FDC e Katonga bagenda kutuula bakenneenye ensonga zebaggye mu bitundu ebyenjawulo.
Agambye nti bakooye okusika omugwa ne FDC e Najjanankumbi, nti kubanga government yagiseensera dda.
Tukitegedeko nti batandise n’okunoonya erinnya lyebasobola okutuuma ekibiina ekiggya, n’entegeka z’okukiwandiisa mu kakiiko k’ebyokulonda.#