Olukiiko lw’abalabirizi mu kkanisa ya Uganda olwa House of Bishops lulonze Rev. Canon Jacob Ateirweho ng’omulabirizi owomukaaga owa Bunyoro Kitala.
Alondeddwa mu lukiiko lw’abalabirizi olutudde e Lweza.
Abadde aweereza nga Vicar General wa lutikko ya All Saints Church Hoima mu bulabirizi bwa Bunyoro Kitara.
Sadiq Adams ayogerera ekanisa ya Uganda aganbye nti Can. Jacob Ateirweho wakutuuzibwa ng’Omulabirizi nga 11 August,2024.
Mukyala we ye Irene Kobusinge, nga balina abaana 5.
Canon Jacob Ateirweho yazaalibwa nga 24th August 1968 mu ddwaliro lye Hoima.#