Sipiika wa parliament Anitah Annet Among alagidde abakulira emizannyo baddemu bawandiikire ekibiina ekifuga omuzannyo gw’omupiira mu Africa (CAF), nti baddemu bekeenneenye ekisaawe ky’e Namboole okulaba omutindo gwekiriko kati Uganda eweebwe omukisa okutegeka empaka za CHAN.
Okuddaabiriza ekisaawe kino kukyagenda mu maaso, kyakasaasaanyizibwako ensimbi za Uganda obuwumbi 80.
Okulambula kwa speaker Annet Anita Among kugidde mu kiseera ng’ekibiina ekiddukanya omupiira ku semazinga Africa ekya CAF kyakamala okugaana okuyisa ekisaawe okutandika okukozesebwa olw’emirimu egikyabula ku kisaawe kino.
Enfunda nyingi ddala minister omubeezi ow’ebyemizannyo Peter Ogwang azze abulira eggwanga nti omulimu gw’okuddabiriza ekisaawe kino gutambula bukwakku era nti essaawa yonna ekisaawe kino kitandika okuzanyirwamu emipiira.
Olw’ekisaawe kino okuba nti kikyaddaabirizibwa, ttiimu y’eggwanga eya Uganda Cranes emipiira gyayo egikyaliza bweru wa Uganda, nga gyebuvuddeko yazannyirako mu Cameroon ne Morocco.
Uganda Cranes era eri munteekateeka ez’okuddayo okukyaliza emipiira gino ebweru wa Uganda egya World Cup qualifiers egya June,2024 mw’egenda okuzannya ne Botswana ne Algeria.
Omulimu gw’okuddabiriza ekisaawe kye Namboole gukoleddwa ekitongole ky’eggye lya UPDF ekizimbi.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe