Mufti wa Uganda Sheik Shaban Ramathan Mubajje yebazizza ekitongole kya mawanga amagatte ekya United Nations olw’okuvaayo nekivumirira okulwanagana n’ekitta basiraamu ekiri mu Palastine ne Sudan, naasaba amawanga amalala okukola kyekimu nti osanga kinatasa kubantu abafiira obwereere.
Wabalukawo olutalo wakati w’akabinja ka Hamas akoomu Palastine naba Israel mu makati g’omwaka gwa 2023 ,era abantu abali eyo mu mitwalo naddala abaPalastine bafiriddwa obulamu bwabwe mu lutalo luno.
Mufti Mubajje asinzidde mukusaala Eid Elfitir gyakulembeddemu ku muzikiti gwa Kampala mukadde, nasaba ebitongole ebirwanirira eddembe ly’obuntu n’amawanga amalala, okuvaayo bavumirire ebigenda mu maaso munsi ezzo okutaasa abantu abafiira obwemage.
Mungeri yemu Mufti asabye abasiiramu okubeera obumu n’okwenyigira mu program za government zonna ezigenderera okubakulakulanya nga Parish Development Model ne myooga, nti kuba baazekenenya bulungi nga tezikontana namateeka agafuga obusiiramu.
Mufti agamba nti tezirimu magoba obusiiramu kyebuyita Liibba, ng’ensmbi nga bwoziwereddwa bwozizzayo kwekubiriza abasiiramu mu ggwanga lyonna okuzetanira bekulakulanye.
Omumyuka wa Mufti Sheik Muhammed Ali Waiswa nga yakulembeddemu okubuulirira kutubba oluvanyuma lwa Swallat Eid, asabye abasiiramu okusigala nga bali bumu ne bwebabeera nga bafunye obutakaanya.
Sheik Waiswa era akubirizza abasiraamu okuwa abakulembeze babwe ekitiibwa kuba obukulembeze bwebalimu bwava eri mukama Katonda.#