Minister wa government ez’ebitundu Rafael Magezi agambye nti enteekateeka y’okwongeza emisaala gy’abakozi ebitundu 100 ku 100 etandise okuteesebwako ng’emu ku nkola y’okwongera okutereeza obuweereza bwabwe.
Minister abadde mu kakiiko ka parliament akalondoola government ez’ebitundu, n’agamba nti ba ssentebe b’ebyalo bakwongezebwa okuva ku shs 10,000 okudda ku mitwalo 50,000 buli mwezi.
Ba sentebbe b’amagombolola bakwongezebwa okuva ku 400,000/= okudda ku 800,000/=.
Ba kansala bamagombolola bakuva ku 35,000 badde ku 70,000 buli lutuula.
Ba kansala ba munisipaali ne district bakwongezebwa okuva ku 250,000/ badde ku 500,000/= buli mwezi.
Ba ssentebbe ba district neba meeya b’ebibuga bakwongezebwa okuva ku million 2 okutuuka ku million 4.
Enteekateeka eno, minister Magyezi yagambye nti ekyaali mu kuteesebwaako.
Ssentebe wa district ye Wakiso Matia Lwanga Bwanika agambye nti gavument gyeyogera tegenda kubituukiriza wabula egenderera kubabuguumiriza.
Ssentebe wa district ye Butambala Rashida Namboowa agambye nti embeera y’ebyenfuna mu ggwanga yeyongedde okutabuka, nti n’ogwo omusaala gwebabasuubizza bulinga bukunkumuka, bwogerageranya n’emirimu gyebakola nebibasuubirwamu.
Ssentebe w’eggombolola ye Kyanamukaaka mu district ye Masaka Cyrus Kalema agambye nti yeggyako obuvunaanyizibwa bw’okutuusa obuweereza eri bannansi nebulekera abakulembeze ,naagamba nti noobwo obutono bwayagala okubongezaako tebumala.
Abakulembeze bano bazze bemulugunya olw’okusasulwanga obusente obutono sso nga bakola emirimu mingi egigasa abantu obutereevu wansi.#