Kooti etaddewo olwa nga 02 July,2024 okutandika okuwulira omusango gw’obutemu oguvunaanibwa namwandu Molly Katanga ne bawala be 2 , abateeberezebwa okwenyigira mu kutemula bba Henry Katanga.
Molly Katanga okutemula bba Henry Katanga nga 02 November,2023 mu maka gabwe e Mbuya.
Omulamuzi Isaac Muwata ataddewo olwa nga 02 July,2024 okutandika okuwulira omusango, oluvannyuma lw’akafubo kebasooseemu ne bannamateeka babawaawabirwa ne Ssaabawaabi wa government.
Abalala abavunaanibwa mu musango guno kuliko bawala ba Molly: Patrica Kakwanzi ne Martha Nkwazi abagambibwa okugezaako okuyambako nnyabwe okubuza obujulizi, wamu n’eyali omukozi wewaka George Amanyire n’omusawo Charles Otai, wabula bonna baayimbulwa ku kakalu ka kooti.
Nnamwandu Molly Katanga akyali ku alimanda mu kkomera e Luzira, wabula ng’okuwulira okusaba kwe okw’okweyimirirwa kwakubaawo nga 03 April,2024.