Abantu 5 abateeberezebwa okwenyigira mu kutemula Omutaka Eng. Daniel Bbosa Kakeedo eyali Lwomwa akulira ekika ky’endiga basindikiddwa ku alimanda okutuusa nga 11 April,2024 lwebalikomezebwawo mu kkooti.
Omulamuzi Adams Byarugaba owa Mwanga II e Mmengo abasindise mu nkomyo oluvannyuma lw’okubasomera omusango gw’obutemu.
Tabakkirizza kubaako kyeboogera nti kubanga omusango gwabwe gwa nnaggomola oguwulirwa kkooti enkulu yokka.
Oludda oluwaabi nga lukulemberwamu Caloline Mpumwire lutegeezezza kkooti nti okunoonyereza ku ttemu lino kukyagenda mu maaso.
Abasindikiddwa ku alimanda kuliko: Luggya Noah abadde mu ddwaliro e Mulago ng’ajjanjabibwa oluvannyuma lw’abatuuze okumukuba nebamutuusaako obuvune ku lunaku lwennyini ettemu lweryariwo.
Abalala kuliko; Milly Naluwenda, Mayanja Ezra, Harriet Nakiguli ne Joseph Nakabaale.
Nga 25 February 2024, abaseddekezi baazinduukiriza Eng. Daniel Bbosa bweyali anaatera okutuuka ewuwe e Lungujja nebamukuba amasasi agaamuttirawo.
Mu kavuvungano ako, abatuuze nga bayambibwako abagoba ba boda boda, baafubutula abatemu nebakwatako babiri, omu nebamukuba nebamutta ate omulala police nemutaasa ate omundi n’adduka.
Police egamba nti ekyawenja abantu abalala ku ttemu lino, era omu ku bbo amanyiddwa nga Tabula Luggya Bbosa agambibwa nti yeyateeka ensimbi mu kusanyaawo omugenzi, police yamuteekako obukadde bw’ensimbi 10 ezinaawebwa omuntu yenna amanyi amayitire ge nabatusaako amawulire ago.
Bisakiddwa: Mpagi Recoboam