Olukiiko lw’Abalabirizi mu kkanisa ya Uganda lulonze Rev Canon Wilson Kisekka, okubeera Omulabirizi w’obulabirizi bwe Luweero omuggya.
Rev.Wilson Kisekka alangiriddwa wamu ne Rev.Alfred Muhoozi ow’obulabirizi bwa North Ankole, mu lutuula lw’Abalabirizi olubadde ku Lweza Training and Conference Centre.
Kisekka agenda kufuuka Omulabirizi w’e Luweero owokuna, agenda kudda mu bigere bya Bishop Elidaad Nsubuga.
Rev. Wilson Kisekka yabadde ssabadiikoni we Bukoba mu bulabirizi bwe Mukono.
Yasooka kuvuganyako ku ntebe y’Omulabirizi bwe Mukono wabula naawangulwa Bishop Enos Kitto Kagodo.
Rev. Wilson Kisekka ku ntebe ye Luweero abadde avuganya ne Rev. Canon Abraham Muyindo avunaanyizibwa ku mirimu mu bulabirizi bwe Namirembe.
Entebe y’Obulabirizi bwe Luweero ebadde ekuumibwa Omulabirizi eyawummula eyali e Mukono, Bishop Dr. Ssebaggala James, ngono yalondebwa Ssaabalabirizi okujira ng’amukuumirako entebe eyo.
Sadiiki Adams ayogerera ekkanisa ya Uganda agambye nti omulabirizi omulonde Wilson Kisekka e Luweero wakutuuzibwa nga 24 March,2024 mu St. Mark’s Cathedral Luweero.
Luweero wabaddeyo okusika omuguwa oluvanyuma lwa Rev.Godfrey Kasana Ssemakula, eyali alondeddwa okuyimirizibwa n’atatuuzibwa ku bigambibwa nti yalondebwa mu bukyamu nga yali tatuukiridde.
Mu ngeri yeemu ekkanisa ya Uganda eronze Rev. Canon Alfred Muhoozi, okuba omulabirizi ow’okusatu owe Ankole era wakutuuzibwa ku Sunday nga 26 May,2024 ku St Emmanuel Cathedral e Rushere.
Bisakiddwa: Ddungu Davis