Obubaka bw’ekisiibo okuva ewa Rev Fr. Peter Bukya.
“Twezze buggya mu kukkiriza”
Wiiki yaffe ey’okubiri mu kisiibo, Omukama atujjukiza obulamu bwaffe okubuzza obuggya nga tunyweza okukkiriza kwaffe mu Katonda.
Essuubi n’obwesige bwaffe tetubiggya ku Katonda kubanga ye waali tewali kirema. Ate Omukama omukisa gwe n’empeera abisuubiza era n’abiwa abaana be abamukkiriza n’omutima gwabwe gwonna nga bweyakolera jjajjaffe Ibrahim.#