Club ya Express FC mukwano gw’abangi esudde obubonero 2 mu Uganda Premier League bwegudde amaliri ne Bright Stars ga goolo 1-1.
Omupiira guno guzannyiddwa mu kisaawe e Kavumb.
Express yesoose okuteeba nga eyita mu Isaac Wagoina mu dakiika eya 47 ate Bright Stars n’egattawo , Ashiraf Mulinde yagiteebedde mu dakiika eya 83.
Express mukwano gwabangi esigadde mu kifo kya 8 n’obubonero 26, Bright Stars esigadde ya 11 n’obubonero 22.
Mungeri yeemu Mbarara City ekubye Busoga United goolo 1-0 mu kisaawe e Kakyeeka Mbarara, goolo eno etebeddwa Edward Namasa mu dakiika eye 13.
Bisakiddwa: Issah Kimbugwe