Banna kibiina kya FDC ekiwayi kya Katonga road bayisizza ensonga 5 kwebagenda okusinziira okununula ekibiina kyabwe ekya FDC.
Mulimu esonga ey’okutandikawo ekibiina kye by’obufuzi ekiggya bave munsindikagano.
Okukozesa amateeka okununula ekitebe kya FDC e Najjanankumbi
Okulonda abakulembeze abajjuvu abanatwala FDC mu maaso.
Okwewala endooliito mu kibiina.
Okukolera ekibiina kyabwe ebiwa bannauganda essuubi.
Ssalongo Erias Lukwago akolanga president wa FDC ku Katonga, yayanjudde ensonga zino.
Ssentebe w’akakiiko ke byokulonda mu FDC Micheal Kabaziguluka agambye nti nga akakiiko ke byokulonda omwezi ogujja ogwa March kagenda kutegeka okulonda kw’ekibiina abantu balonde obukulembeze bwebagala okukulembera ekibiina kyabwe
Omukulembeze w’ekisinde kye byobufuzi ekya Peoples Front For Transition era munna kibiina kya FDC Col Kizza Besigye Kifefe alabudde ebibiina by’obufuzi ku ludda oluvuganya government nti tebigeza nebigwa mu katego akakolebwa government okubyawulamu mu kaseera kano nga okulonda kwabona kusembede
Besigye abadde ku Katonga Road mu Kampala bwabadde mu lukiiko lwa National Council olw’ekibiina kino ekiwayi kyoku Katonga road nategeeza nti buli ekiseera kya kalulu lwekisembera, government esensera nnyo ebibiina ebirala naddala ebyamaanyi neeteekawo obukuubagano mu bakulembeze.
Besigye agambye nti banna byabufuzi bangi ab’omulugube abakozesebwa okusuula ebibiina byabanabwe n’okubikutulamu nasaba ,ebibiina ebivuganya government okutandiika okutunula enkaliriza ku nsonga zino kubanga zitandiise.
Agambye nti ebibiina kekaseera binywerere kunsonga ezaabitandisa bwebiba byakununula eggwanga.
Bisakiddwa: Lukenge Sharif