Bannantameggwa b’empaka z’omupiira mu Africa aba 2021 aba Senegal bawanduse mu mpaka zino eza 2023, bakubiddwa abategesi aba Ivory Coast goolo 5-4 eza penati, oluvanyuma lw’okulemagana goolo 1-1 mu dakiika 130.
Kati Ivory Coast erindiridde omuwaguzi wakati wa Mali ne Burkina Faso battunke ku quarterfinal.
Mungeri yeemu Cape Verde yesozze omutendera gwa quaterfinal bw’ekubye Mauritania goolo 1-0, era Cape Verde erinze omuwanguzi wakati wa Morocco ne South Africa ku mutendera gwa quaterfinal.
Emipiira 2 gyegibuluyo okuggalawo ekibinja kya tiimu 16.
Omupiira ogugenda okusokawo kusaawa 2 ez’ekiro, Mali egenda kuttunka ne Burkina mu kisaawe kya Amadou Gon Coulibaly ekisangibwa mu kibuga Korhogo, nga ekisaawe kino kituuza abantu emitwalo 2.
Kusaawa 5 ez’ekiro, Morocco egenda kuzuzumba ne South Africa mu kisaawe kya Laurent Pokou ekisangibwa mu kibuga San Pedro.
Bisakiddwa: Issah Kimbugwe