Ekibiina ekiddukanya omupiira mu Uganda ekya FUFA nga bakolaganira wamu n’olukiiko oluddukanya liigi ya babinywera eya Uganda Premier League, bafulumizza ensengeka y’emipiira egy’oluzannya olw’okuddingana olwa season eno 2023/24, kyokka club ya Arua Hill esuuliddwa ttale olw’okulemererwa okutuukiriza ebisanyizo bya liigi eno.
Arua Hill yazannye ku mutendera ogwasoose ogwa season eno, naye terabikidde munsengeka ez’oluzannya olw’okuddingana.
Kitegerekese nti Arua ekyalemereddwa okutuukiriza amateeka ga Club Licensing buli club g’etekeddwa okutukiriza okuzannya mu liigi.
Ensonga z’obukulembeze obutali bulambulukufu naddala ku bwannanyini bwa club, kye kimu kubizaliidde Arua Hill ebitukula.
Bino era bigidde mu kiseera nga club eno eri mu katuubagiro k’ebyensimbi ekituuse n’okuletera abazannyi abasing obungi okugyabulira, nga ne muluzannya olwasoose yazannye omupiira ne Kitara nga erina abazannyi 8 bokka ku kisaawe.
Wabula Arua Hill erina omukisa ogujulira ku nsoga eno.
Oluzannya olw’okubiri olwa Uganda Premier League lugenda kutandika nga 01 February,2024, nga Villa Jogo Ssalongo ejja kuzannya ne Maoroons mu kisaawe e Wankulukuku.
Nga 02 February, Mbarara City ejja kuttunka ne Express, Gaddafi ne URA e Jinja, KCCA ne BUL e Lugogo n’emizannyo emirala.
Oluzannya olusooka olwa liigi lwagwako nga BUL ekulembedde n’obubonero 33, Vipers n’obubonero 30, Kitara yakusatu n’obubonero 29, Maroons yakuuna n’obubonero 28 ate nga Arua Hill esembye n’obubonero 5.
Bisakiddwa: Issah Kimbugwe