Club ya KCCA ekiguddeko Wakiso Giants egikubye goolo 2-1 mu kikopo kya Uganda Premier League.
Omupiira guzannyiddwa mu kisaawe kya Kabaka Kyabaggu e Wakiso.
Goolo eziwadde Wakiso Giants obuwanguzi ziteebeddwa Kenneth Kimera mu dakiika eya 23 ne Samson Kigozi mu dakiika eya 61 ate Ashiraf Mugume naateeba goolo ya KCCA.
KCCA emazeeko oluzannya olusooka olwa liigi n’obubonero 19; mu mipiira 15 ekubiddwa emipiira 8, amaliri ga mupiira gumu ate n’ewangula emipiira 6.
Express mukwano gw’abangi eraze eryanyi bw’ekubye Gaddafi goolo 3-0 mu kisaawe e Wankulukuku.
Goolo za Express ziteebeddwa Isaac Wagoina, Alpha Ssali ne Andrew Kawooya.
BUL egudde maliri ne Mbarara City goolo 1-1 mu kisaawe kya FUFA Technical Center e Njeru.
NEC ekubye Arua Hill goolo 2-1 mu kisaawe e Lugogo mu Kampala.
BUL esigadde yekyakulembedde liigi n’obubonero 33.
Kitara yakubiri n’obubonero 29.
Maroons yakusatu n’obubonero 28.
Vipers yakuna n’obubonero 27.
Arua Hills esembye n’obubonero 5.
Bisakiddwa: Issah Kimbugwe