Ebitongole bya bambega ba police ebitali bimu bitandise okunoonyereza ku kampuni ensizi z’ensimbi mu Kampala , eziteeberezebwa okufiiriza bannansi ensimbi nga zefuula ezibakolera amagoba.
Ezimu ku kampuni ezinoonyerezebwako kuliko Beta plan, Mal fund, Cash Mula, Contract Capital n’endala abantu zebemugulunyizzaako.
Okunoonyereza kuno wekuggidde nga waakayita ebbanga ttono, nga Kampuni ya Capital Chicken nayo ekyanoonyerezebwako, oluvannyuma lw’abantu abawerako okugyemulugunyaako nti yabanyago ensimbi ezisoba mu buwumbi obutaano, ezaali ez’okusiga ensimbi mu kulunda e Nkoko.
Omwogezi wa police mu ggwanga Fred Enanga , ategeezezza bannamawulire ku kitebe kya police ekikulu e Naggulu nti obubbi obw’ekika kino bukoleddwa kampuni ezikyusakyusa amannya ,ekiwa ba memba baazo obuzibu okulondoola ssente zabwe.#