Ekitongole ekirafuubanira obwenkanya ekya Equal Opportunities Commission kirabudde abakulrmbeze ba district okusaawo enkola ezirondoola abakozi baazo okutuusa obuweereza obusaanidde eri abantu, nga tebasoose kubakaanda nsimbi.
Abakulira ekitongole nga bakulembeddwamu Ssentebe wakyo Hajjati Safia Nalule Jjuuko babadde basisinkanye abakulembeze ba district ye Luweero, okukuba tooki mu nteekateeka y’embalirira ya district n’obuweereza obutuusibwa ku bantu.
Equal Opportunities Commission kirafuubana okumalawo okusosolebwa ,obutali bwenkànya wamu n’okunyigirizibwa mu bantu nga besigàma ku kikula kyabwe,emyaka,gyebava,gyebabeera wamu n’obutondebwe bwabwe.
Hajjati Safia Nalule agambye nti mu kiseera kino abavubuka beyongedde okubeera abanafu mu bwongo ne mu mibiri nga n’olwekyo abakulembeze balina okusaawo enkola okuviira ddala mu bukulembeze obwa wansi okubazuukusa babeere bakozi.
Abalagidde n’okwekennenya amasomero agasukkiridde okubinika abazadde ensimbi ezitali mu mateeka, naawa eky’okulabirako eky’amasomero ga government aga primary agalimu enkola ya bonna basome, agasasuza abazadde ensimbi za UNEB so nga ne government ebeera ebasasulidde.
Agambye nti n’abantu ba bulijjo bangi beyongedde okugwamu essuubi eri obuweereza bwa government,olw’abakozi okubasaba sente okubagusaako obuweereza so ng’obusinga bubeera bwa bwereere, abalala balowooza bwa kiboggwe, n’abamu okubakaandaaliriza.
Martin Yiga amyuka CAO we Luweero agambye nti ensonga zonna ezinokoddwayo Equal Opportunities Commission zakubayamba okwekubamu tooci n’okulondoola enkola y’emirimu, n’agamba nti balina n’okusoomozebwa kw’okubeera n’abakozi abatamala mirimu egyenjawulo, ekireetera abakozi abamu okubinikibwa emirimu.
Abakulira ekitongole bawadde amagezi eri abakulembeze ba district ye Luweero okwongera okunyikiza okukyusa endowooza z’abantu, nga kino kyakubayàmba okumenya omugaso gwokwekolerà, n’obuweereza obusaanidde eri abantu.
Bisakiddwa: Conslata Taaka