Akabenje kugudde e Makindye mu Kampala okuliraana essuundiro ly’amafuta erya Africa emmotoka ebadde yetisse amatooke eremeredde omugoba waayo, n’esaabala emmotoka endala ne bodaboda omusaabaze omu afiiriddewo.
Kiteberezebwa nga nti emmotoka eno egaanye okusiba n’etandika okutomera endala
Abelabideko nagabwe bagamba nti wadde emmotoka ebadde tesiba nti naye n’oluguudo okuba olubi lulemesezza abalala okwetaasa.
Omusaabaze afudde abadde ku bodaboda, police omulambo eguggyewo.
Bisakiddwa: Lukenge Sharif