Ababaka ba parliament abatuula ku kakiiko akalondoola obutonde bwensi ,obugagga obwensibo n’amasanyalaze balemeddwa okukaaanya ku bbago ly’etteeka government mweyagala okuyita okweddiza obuvunanyizibwa obuleeta mu ggwanga amafuta ,ababaka bano bakoze alipoota bbiri ezikontana okuli ewagira ebiteeso bya government nendala ebiwakanya.
Mu nnongosereza mu tteeka ly’amafuta erya Petroleum supply Act Amendment bill 2023, government eyagala ekitongole kyayo ki Uganda National Oil Company kyeddize obuvunanyizibwa obugula amafuta okuva mu katale gyebagatunda mu mawanga ga Buwalabu, egeereetere egaguze kampuni ezigeetaaga ezinagatuusa ku muntu wabulijjo.
Mu nteekateeka eno , government ya Uganda eyagala kugyawo ba kayungirizi be Kenya bonna ababadde baguza kampuni za Uganda, nga bagaduumudde ebiwendo.
Goverment ya Uganda yakola endagaano ne kampuni ya Vitol nti yokka yegenda okuleeta amafuta okuva mu mawanga gabuwarabu egaguze ekitongole ki Uganda national Oil Company ,olwo kigaguze kampuni ezigeetaaga.
Ensonda mu kakiiko ka parliament akabadde kekeneenya ebbago lino, zibuulidde CBS FM nti ababaka abasinga obungi ku kakiiiko baasimbidde ekkuuli ekya kampuni ya Vitol okuba nti yeyokka eweebwa olukusa okuleeta kuno amafuta.
Ababaka abawakanyiza kino mu alipoota yaabwe bagambye mu omulimu guno kampuni ya Vitol tegusobola yokka kuba terina na materekero gamala, bagala ne kampuni endala zigattibweko.
Bakinogaanyiza nti kampuni ya Vitol terina busobozi bumala ,yokka okukola omulimu guno, kubanga amaterekera omutateerekebwa amafuta tegalina, nobusobozi obulala okutwaaliza awamu tebulina
Obutafanaanako nga bulijjo bwekize kibeera nga alipoota ewakanya ate yeyababaka abatono ,ensonda zitegeezeza nti ate alipoota ewakanya enteekateeka za government ku nsonga z’amafuta zino, yeesinze ababaka abangi singa tewabaawo kikyuuka nga tenayanjulwa eri parliament.
Ensonda mu kakiiko kano era zibuulidde CBS ,nti ebiri mu ndagaano government gyeyakola ne kampuni ya Vitol nabyo birimu ebirumira biyitirivu
Ababaka abawakanya enteekateeka ya government era beeralikirivu nti enkolagana ya Kenya ne Uganda eyolekedde okudobonkana, singa etteeka lino liyisibwa.
Okusinziira ku nsonda mu kakiiko, amaterekero Uganda gesuubira okuterekamu amafuta bwegava ku katale gyenaagagula gali Kenya ,kale nti singa Uganda yesamba Kenya mu nsonga eno, Kenya yandiwalirizibwa okukaluubiriza Uganda mu nteekateeka y’obusuubuzi bw’amafuta
Government ya Kenya yagaanyi okusaba kwa Uganda okukozesa omuddumu gwayo ogw’amafuta, okuyisaamu amafuta gaayo nga kigambibwa nti kivudde ku nteekateeka Uganda gyeriko ey’okuggyawo bakayuungirizi b’amafuta e Kenya.
Ababaka abawakanya enteekateeka za government ku nsonga eno, era ensonda zitegeezeza nti tebaweereddwa budde bumala okwetegereza etteeka lino nti yadde akakiiko kaweebwa ennaku 45 okwetegereza amabagobagaleetebwa.
Okwekennenya ebbago lino ery’amafuta kukoleddwa mu bbanga lyannaku 10 zokka, era lisuubirwa okwanjulwa mu parliament likubaganyizibweko ebirowoozo nga 14 November,2023.#