Ekibiina ekiddukanya omupiira ogw’ebigere mu Uganda ekya FUFA kironze munnansi wa Belgium Paul Put myaka 67, ng’omutendesi omuggya owa ttiimu y’eggwanga eya Uganda Cranes.
Omukolo gw’okwanjulira bannayuganda omutendesi ono gubadde ku kitebe kya FUFA e Mengo mu Kampala, gukoleddwa president wa FUFA, Ssalongo Eng Moses Magogo.
Omutendesi omuggya Paul Put atadde omukono ku ndagaano ya myaka 2 nga atendeka Uganda Cranes.
Eng Moses Magogo agambye nti FUFA okulonda Paul Put esinzidde ku bumanyirivu bwalina mu kutendeka omupiira ku semazinga Africa, atendeseeko amawanga amalala okuli Gambia, Burkina Faso, Gabon, Kenya, Guinea ne Congo Brazzaville.
Pual Put azze mu bigere bya Milutin Micho Sredojevic munnansi wa Serbia eyagobwa ku mulimu guno mu September wa 2023.
Uganda Cranes omwezi oguyise rbadde wansi w’omutendesi ow’ekiseera Morley Byekwaso, kyokka endaganoye ey’omwezi ogumu yaweddeko nga 31 October,2023.
Paul Put okutuuka ku buwanguzi bw’omulimu guno, ayise mu kakungunta kabatendesi 245 ababadde baatekamu okusaba kwabwe okutwala omulimu guno, kyokka bannayuganda tebajjumbira kusaba mulimu guno, nga 2 bokka bebatekamu okusaba.
Omulimu gw’omutendesi omuggya ogusooka gugenda kubeera gwakuteekateeka ttiimu egenda okuvuganya mu mpaka za World Cup qulifiers, era Uganda Cranes munteekateeka eno egenda kuggulawo némipiira 2.
Emipiira gyombi egenda kusookera ku bugenyi, era yakusooka kuzannya ne Guinea ne Somalia wakati wa nga 13 ne 21 November,2023.
Uganda mu mpaka za World Cup qualifiers eri mu kibinja G ne Algeria, Guinea, Mozambique ne Somalia.
Mu kiseera kino Uganda Cranes ekwata ekifo kya 90 mu kucanga endiba munsi yonna.
2008–2011: Gambia
2012–2015: Burkina Faso
2015–2016: Jordan
2016–2017: USM Alger
2017–2018: Kenya
2018: Xinjiang Tianshan Leopard
2018–2019: Guinea
2020–2021: Saif SC
2021: Congo
Abatendeseeko Uganda Cranes okuva mu mwaka gwa 1965;
- Alan Rogers (1965–1966)
- Robert Kiberu (1969)
- Burkhard Pape (1969–1972)
- David Otti (1973–1974)
- Otto Westerhoff (1974–1975)
- Peter Okee (1976–1981, 1983)
- Jaberi Bidandi Ssali (1982)
- George Mukasa (1984–1985)
- Barnabas Mwesiga (1986–1988)
- Polly Ouma (1989–1995)
- Timothy Ayieko (1995–1996)
- Asuman Lubowa (1996–1999)
- Paul Hasule (1999, 2001–2003)
- Harrison Okagbue (1999–2001)
- Pedro Pasculli (2003)
- Leo Adraa (2003–2004)
- Mike Mutebi (2004)
- Mohammed Abbas (2004–2006)
- Csaba László (2006–2008)
- Bobby Williamson (2008–2013)
- Milutin Sredojević (2013–2017, 2021–2023)
- Moses Basena (2017, Interim)
- Sébastien Desabre (2017–2019)
- Abdallah Mubiru (2019, Interim)
- Johnny McKinstry (2019–2021)
- Abdallah Mubiru (2021, Interim)
- Morley Beyekwaso (2023, Interim)
- Paul Put (2023- )