Abakulembeze ba National Unity Platform (NUP) bongezaayo enteekateeka y’okuggulawo wofiisi zabwe empya e Makerere Kavule mu Kampala, okutuuka enkya ku Friday nga 03 November, oluvannyuma lw’abebyokwerinda okuziingako ekitebe kyabwe.
President wa NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu abadde ku kitebe kyabwe ekye Kamwokya n’abakulembeze abalala, n’alangirira enkyukakyuka zino.
Omumyuka w’omubaka wa government e Kawempe Yasin Ndidde yategeezezza nti babadde tebayinza kukkiriza NUP okugenda mu maaso n’enteekateeka zabwe, nti kubanga omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museven naye asuubirwa okulambula Kawempe ku lunaku luno lwe lumu olwa Thursday 02 November,2023.
Bwabadde ayogerako ne banamawulire ku kitebe Kya NUP e Kamwokya Kyagulanyi agambye nti balina abakungu bangi abayitiddwa ku mikolo gino, nga n’olwekyo tebaagadde kusaawo mbeera yakusika muguwa.
Wabula Omwogezi wa police mu Kampala n’emiriraano Patrick Onyango asabye banakibiina kya NUP okusooka okukwatagana n’ebitongole by’okwerinda nga tebanateekateeka mikolo gyabwe, nti kubanga babadde tebanategeeza ku ssabapolice Martin Okoth Ochola ku ntegeka za Friday.#
#