Kooti y’ekitongole ekivunanyizibwa kukuwandiisa amakampuni mu ggwanga ki Uganda Registration Services Bureau URSB egobye omusango ogwawabwa Frank Gashumba ne Ssentebe wa District ye Lwengo Ibrahim Kitatta, mwebabadde bawakanyiza office ya ssentebe wa NRM era president wa Uganda eya Office of National Chairperson etuula e Kyambogo okukozesa engombo ya “Mzee omalako Jajja tova ku main”
Mu June 2023 Kitatta ne banne beekubira enduuli eri ekitongole kino nga baagala kiyimirize office eyo okumozesa engombo eyo n’ekifaananyi kya Museveni nga bagamba nti bebaabiyiiya era biriko abantu abalala ababikozesa era nti babirinako obwannannyini.
Omuwandiisi wa kooti y’ekitongole kya URSB Denis Birungi ategezezza nti okusinziira ku bujulizi obwaleetebwa mu kooti bakizudde nti offisi ya Pulezidenti yeyasooka okukozesa engombo eno.
Munamateeka w’akulira office eyo Hadija Namyalo nga ye Usama Ssebuufu agambye nti omuntu we yali yawandiisa dda ebigambo bino.
Wabula Frank Gashumba ne bane balaze obutali bumativu nensala eno era bagamba nti bakujulira
Gy’ebuvuddeko kooti yali yayimiriza okuddamu okukozesa engombo eyo eya “Mzee omalako Jajja tova ku main”.