Kkooti y’amagye etuula e Makindye erangiridde olwa nga 14th November,2023 kuddamu okuwulira buto okusaba kwokweyimirirwa okwatwalibwayo bannakibiina kya NUP 32 abakwatibwa mu biseera byokuwenja akalulu ka president aka 2021.
Bavunaanibwa emisango gy’okusangibwa mu bukyamu neby’okulwanyisa saako nebyambalo by’amagye, era ng’enfunda eziwera nabadde bammibwa omukisa gw’okweyimirirwa.
Wabula olukomezeddwawo mu kkooti y’amagye, Ssentebe wa kkooti eno Brig. Freeman Mugabe kwekubategeeza nti wakuwulira okusaba kwabwe okuyimbulwa ku kakalu omwezi ogujja ogwa November,2023.
Bannakibiina bano 32 b’amaze ebbanga erisukka mu myaka 2 mu nkomyo era nga baakwatibwa okuva mu bitundu ebyenjawulo mu ggwanga.
Abajulizi 6 bebakabawaako obujulizi ku misango egibavunaanibwa egy’okusangibwa n’ebintu ebigambibwa okuba eby’amagye.
Bisakiddwa: Mpagi Recoboam