Government ya Uganda ekoze endagaano ne kampuni ya Bidco Uganda Limited, okulima ebinazi mu kitundu kya Sango Bay mu district ye Kyotera.
Enteekateeka eno egendereddwamu okwongera ku bungi bwa butto akolebwa mu Uganda.
Minister w’ebyensimbi n’okuteekerateekera eggwanga Matia Kasaija yataddeko omukono ku lwa government ya Uganda.
Omukolo guno gwetabyeko ne ssaabaminister wa Uganda Robinah Nabbanja.#