President wékibiina ekiddukanya omupiira mu Uganda ekya FUFA, Eng Moses Magogo, alangiridde nti Uganda ng’ekolagana ne bamulirwana baayo aba Kenya ne Tanzania bamaze okuteekamu okusaba kwabwe okutegeka empaka za Africa eza African Nations Championships CHAN, ezigenda okubeerawo omwaka ogujja 2024.
Eng Moses Magogo bino abyogedde yakava e Misiri gyéyabadde mu lukiiko lwa CAF olwalonze Uganda, Kenya ne Tanzania okutegeka empaka za Africa Cup of Nations ezómwaka 2027.
Eng Moses Magogo agambye nti mu kwetegekera empaka za AFCON 2027, bagaala kusooka kutegeka mpaka za CHAN nékigendererwa ekyókugezesa n’okwezuula webatuuse mu kwetegegekera empaka za AFCON 2027.
Empaka za CHAN zetabwamu abazannyi bokka abazannyira ewaka, era zatandika mu 2009, nga Senegal yeyawangula empaka ezasembayo 2022 ezaali mu Algeria.
Uganda, Kenya ne Tanzania zigenda kutegeka empaka za AFCON omulundi gwaazo ogugenda okusookera ddala.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe