Omuliro gukutte ekizimbe kya Lotus Tower ku Martin road mu Kampala, wabula police etuuse mangu neguzikiza nga tegunasaasaanira kizimbe kyonna.
Emmotoka za police ezizikiriza onuliro eziwera 6 zezireeteddwa okwanganga omuliro guno.
Akulembeddemu ekikwekweto ky’okuzikiza omuliro guno Bwambale Raymond agambye nti ebyuma ebizikiza omuliro (fire extinguishers) ebisoose okukozesebwa abakozi ku kizimbe kino biyambye nnyo okutangira omuliro guno okusaasaana, police webasaangidde n’egutuula ku nfeete.
EKivuddeko omuliro tekikinamanyika.#
Bisakiddwa: Musisi John