Oludda oluvuganya government mu parliament lutadde ministry y’ebyenjigiriza ku nninga ebuulire eggwanga mu lwatu ebiri mu ndagaano gyeyakoze neba musiga nsimbi okuva mu Turkey aba kampuni ya Summa Beyawadde ekisaawe Kya cricket e Lugogo nti okukikulakulanya
Mu nsisinkano eyatuula mu Maka g’obwapresident eyetabwamu ba minister b’ebyenjigiriza ne president Museven bakkaanya ne bamusiga nsimbi aba kampuni ya Summa construction company bakulakulanye ekisaawe kya cricket ekye Lugogo.
Mu lukungaana lwabannawulire olutudde ku parliament, ba minister b’oludda okuvuganya government mu parliament banyonyodde nti tebawakanya nkulakulana ,wabula bagala government ebeeere neerufu ku ngeri gyeyafunamu ba musiga Nsimbi abo, bababuulire eggwanga okwewala abafere.
Minister w’ebyenizannyo ku ludda oluvuganya government Godfrey Kayemba Ssolo ,agambye nti eggwanga lino lifiiriddwa ettaka lingi erizze liweebwa bamusiga nsimbi okulikulakulanya ,wabula ekyennaku eggwanga terifunyeemu okugyako bamusiga nsimbi okutunda ettaka eryo ,ekigendererwa kyalyo nekifa.
Hillary Kiyaga agambye nti government bweba bamusiga nsimbi beyawadde ekisaawe kya cricket ebeekakasa nti batuufu, ebatwale ebweru wa Kampala bazimbeyo ebisaawe byebimu okukulakulanya ebitundu ebyo, okusinga okumenyawo ebiriwo byebaggya okukomekereza nga babisaanyizaawo nga tewali byebazimbye okugyako okutwaala ettaka.
Omwogezi woludda oluvuganya government mu parliment Joyce Bagala agambye nti nga government tenawaayo kisaawe kya cricket oval , eggwanga liteegezebwe ebikwata ku ndagaano eno.
Bagala agamba nti okusinziira ku ndagaano ezizze zikolebwa government nebamusiga nsimbi abalala, balina obukakafu nti n’endagaano yabano nayo 5erimu ebirumira
Oludda oluvuganya government lulangiridde nti singa ministry y’ebyenjigiriza n’ebyemizannyo tevaayo mu lwatu okutangaaza ku biri mu ndagaano eno, bakusaba parliament etondewo akakiiko akenjawulo okuginoonyerezaako.#