President wa Uganda Gen Yoweri Kaguta Museven alagidde abakulu ku kitebe kya NRM nabakulembeera ekibiina kya Baazirwanako okwanguya okukola ku nsonga za baazirwanako basobole okuyambibwa.
President Museven agambye nti abaazirwanako baakola omulimu munene okununula eggwanga lino, n’olwekyo basaanidde okuliyirirwa.
Mzee Museveni asinzidde ku Kisaawe e Kololo mu kujjaguza amazalibwa ge age myaka 79, n’okujjukira abalwanyi bo ku mugga Katonga abetaba mu Lutalo olwaleeta gavumenti ya NRM mu buyinza mu 1986.
President agambye abalwanyi abajjukirwa bebalwana mu nsitaano ez’emirundi ebiri ezaali ku mugga Katonga ,okuli eya 1972 ne 1985.
President Museveni mungeri yemu alabudde abavubuka abataagala kusoma nti bolekedde akaseera akazibu , wabula ono yeweze okufafagana nabakulu bamasomero abesomye okusimbira ekkuuli entekeateeka ya government ey’okusomesa abayizi ku bwereere.
Maj Gen Kashaka Steven akikiridde abalwanyi b’omukatonga ategezeeza nti kaali kaseera kazibu ku Mugga Katonga nga balwaana okuwamba okutuuka mu kibuga Kampala, nga wano wafiirawo abajaasi nabantu babuligyo.
Akulira yafeesi Ssentebbe wa NRM e Kyambogo Hajjati Namyalo Uzei abuulidde President nti obuyambi obuteekeddwa okugenda eri abalwanyi b’omukatonga tebutuukanga, era bangi balekeddwa ttayo wadde nga balwaana.
Omukolo guno gwetabidwaako abalwanyi abakuba emmundu mu Lutalo lwe 1980.
Omumyuka wokulembeeze we ggwanga Rt Mja Jesca Rose Aperu Alupo ,amyuka Ssentebbe wa Nrm Hajji Moses Kigongo , abaliko ba vice presidents Edward Kiwanuka Ssekandi , Proff Gilbert Baali Baseka Bukenya Minister webyokwerinda Vicent Bamulangaaki Ssempijja, bana diini nabantu abalala bangi
Bisakiddwa: Ssebuliba Julius