Abavubuka abakunukkiriza mu 200 banunuddwa amagye ne police mu kikwekweto ekikoleddwa ku kyalo Nampunge mu gombolola ye Kakiri mu District ye Wakiso.
Kigambibwa nti babadde bagibwako ensimbi eziri wakati wa shilling omutwalo gumu n’akakadde, nga babadde basuubizibwa okubatwala okukolera mu Kenya mu woteeri emanyiddwa nga St Mary Hotel.
Maj. Charles Kabona omwogezi wekibinja ky’amagye ekisooka e Kakiri agambye baliko omukyala gwebakutte Harriet Nassuuna abayambeko okuzuula ababadde bakukusa abavubuka banno.
Kabona era alabudde abakulembeze ku mitendera egyenjawulo okubeera obulindaala ku bantu bwebatyo abasobola okukusibwa nebatwalibwa mu butujju.#
Bisakiddwa: Ngabo Tonny