Kampuni ezikola sukaali zagala government eyimirize eby’okugaba licence eri kampuni empya ezagala okukola sukaali
Bannanyini kampuni ezikola sukaali mu Uganda abegattira mu kibiina ki Uganda Sugar Manufacturers Association basabye parliament ebayembeko okulaba nga government eyimiriza okugaba layisinsi eri
kampuni za sukaali empya, ezagala okuzimba amakolero ga sukaali mu bitundu ebirimu amakolero ge gamu.
Nga bakulembeddwamu ssentebe w’ekibiina kyabwe Jim Kabeho okusaba kuno bakukoze bwe babadde balabiseeko mu kakiiko ka parliament akalondoola eby’obusuubuzi n’amakolero akaweebwa obuvunanyizibwa okutunula mu kwemulugunya kwa kampuni zino.
Baaleeta okwemulugunya kuno ku ngeri ministry y’ebyosuubuzi gyegabamu layisinsi etali nnungamu, nebagamba nti ebikajjo ebirimibwa mu bitundu ewali amakolero tebimala okusinziira ku bunene bwa kampuni ezo n’obwetaavu bwa sukaali obuli mu ggwanga.
Bagamba nti eno yemu ku nsonga eziviiriddeko abalimi okutunda ebikajjo ebitanakula bulungi,nekireetera nr sukaali okubeera omutindo ogwa wansi.
Mubiru Wilberforce okuva mu kampuni ya Scoul agambye nti kampuni za sukaali okweyongera obungi ng’ebikajjo tebimala, kyekivaako sukaali okubula ne beeyi ya sukaali okulinnya.
Aldon Walukamba okuva mu kampuni ya Kinyara agambye nti kampuni ennene zikoseddwa nnyo mu nkola ya government eno ey’okuwa liyisinsi eri kampuni empya mu bifo ebirimu amakolero amalala agakola sukaali.
Bisakiddwa: Wasajja Mahad