Abasuubuzi abakakkalabiza emirimu gyabwe munda mu Makerere University baddukidde mu kkooti ejulirwamu nga bawakanya ekya kkooti enkulu gyebuvuddeko okulangirira nti baagobwa mu butuufu okuva mu bifo mwebaali baludde nga bakolera emirimu gyabwe egy’obusuubuzi.
Nga 18 August,2023 kkooti enkulu ng’ekulirwa omulamuzi Boniface Wamala yagoba omusango abasuubuzi bano gwebaali baloopye Makerere University nga bagala kkooti eyimirize okugobwa kwabwe, era ekake University okutuula nabo bogerezeganye ku ngeri gyebateekeddwamu okukola emirimu gyabwe.
Wabula mu nnamula ye, Omulamuzi yakizuula nti University terina mateeka geyamenya ng’ebagoba, bwatyo kwegugoba omusango guno nabalagira baliyirire Makerere ensimbi zonna zeyonoonedde mu musango gwabwe.
Nga bayita mu bannamateeka babwe bawandiikidde kkooti ejulirwamu nebagitegeeza nga bwebagenda okujulira omusango guno, nti kubanga kkooti enkulu teyasensula bulungi nsonga zabwe.
Kinnajjukirwa mu July wa 2022, olukiiko olufuzi olwa Makerere University nga lukulemberwamu amyuka vice Chancellor Henry Arinaitwe lwalagira abasuubuzi bonna abakakkalabiza munda mu ttendekero okulyamuka mbagirawo awatali kuwa nsonga yonna.
Abasuubuzi bano nga bakulemberwamu Ssentebe wekibiina ekibagatta ekya Makerere Business Owners Association Limited, Julius Gumisiriza baasalawo okuddukira mu kkooti enkulu nga bagala esooke eyise ekiragiro ekiyimiriza mbagirawo okugobwa kwabwe nti kubanga tekwali mu mateeka.
Kooti yayisa ekiragiro ekiyimiriza okugobwa kwabwe okutuusa lwesaze omusango ate n’egubasingisa era nebalagira okutikkamu engugu zaabwe ng’abakulu mu University bwebaalagira, abasuubuzi kwekusalawo nebajulira.
Bisakiddwa: Mpagi Recoboam