Government ya Uganda eteekateeka kukomyawo kampuni ya SGS ( Société Générale de Surveillance, okuva e Switzeland eddemu okwekebejja mmotoka zonna ku nguudo okukendeeza ku bubenje obukyase ensangi zino.
Alipoota ya wiiki ya wiiki emu eyise, eraze nti abantu abasukka mu 60 bebaafuna obubenje ku nguudo, sso nga abasukka mu 20 baabufiiramu, ng’obusinga buva ku bulagajjavu bwabaddereeva ne mmotoka zi ganyegenya.
Gyebuvuddeko olukiiko lwa baminister mu Uganda lwakiriza Kampuni ya SGS okuddamu okwekebejja ebidduka byonna okumanya embeera mwebiri nga tebinagenda ku luguudo, okwewala obubenje nokwonoona enguudo.
Parliament yavumirira enkola eno, ng’egamba nti ensimbi ezaali zigerekeddwa okusasulwa bannyini mmotoka nti zaali mpitirivu sso nga nenkola sinambulukufu bulungi.
SGS yali yasaawo ensimbi 59,000 eri abagoba ba Bus, emitwalo 100,000 eri abagoba ba taxi sso nga badereva be bimmotoka ebinene basasulanga 147,500.
Ensimbi zino zavaako obuzibu ng’abagoba ba taxi bagamba tewali ensonga ebasuza ssente nyingi okusinga abagoba ba Bus.
Wano ababaka mu parliament webaasinziira okusimbira ekkuulu enkola za SGS, gyebyagwera nga amatabi ga SGS agazimbibwa kunguddo ezitali zimu gasigadde byangaala.
Minister we byetambula Gen Edward Katumba Wamala agambye nti enteekateeka zitandise okuzaawo enkola ya SGS ,okutaasa obulamu bwabantu obuyitiridde okusaanawo enaku zino nga kiva ku bubenje obweyongedde ku nguddo.
Gen Katumba agambye nti kampuni enno ebanja government obuwumbi bw’ensimbi obusukka mu 100, era enteseganya zigenda mu maaso ez’okubasasula, olwo government erabe engeri gyekomyawo enkola enno nga yegivunanyizibwako butereevu.
Kinajukirwa nti SGS weyaviirawo yali yakazimba amatabi agasuka mu 7 mu bitundu bye ggwanga ebyenjwulo omuli Namboole Stadium ,Nabbingo kuluguddo lwe Masaka ,Namulanda ku Entebbe Road ,Mbale ,Mbarara sako Gulu ne biffo ebirala.#