Ekitongole ekirondoola obwenkanya n’obwerufu mu nsima y’eby’obugagga ebyo muttaka ekya Uganda Extractives Industry Transparency Initiative kiragidde government okutandika okuteeka mu lujjudde endagaano zonna ezikolebwa ne kampuni ezisima eby’obugagga ebyo mu ttaka,n’ebikwata ku bannyini baazo.
Ab’ekitongole kya Uganda Extractives Industry Transparency Initiative babirambise mu alipoota gyebakoze mu kulondoola ebikwata ku ngeri eby’obugagga eby’omuttaka gyebikwatiddwamu mu ggwanga, ebikwata ku kampuni ezibisima, n’engeri abantu ba bulijjo gyebabifunamu.
Wabula mu kwanjula alipoota eno eyakolebwa wakati w’omwaka gwa 2020/21, kizuuliddwa nti endagaano nnyingi ezakolebwa wakati wa government yakuno ne kampuni ezisima eby’obugagga ebyo muttaka okuli amafuta, Zaabu, Limestone, Irore ore n’ebirala tezimanyiddwa bizikwatako, ne ba nnyinizo tebamanyiddwa.
Moses Kaggwa akulira okulondoola eby’enkulakulana mu Ministry y’eby’ensimbi ku lw’ekitongole Kya Uganda Extractive Industries Transparency Initiative asinzidde ku media centre mu Kampala, n’agamba nti government erina okuba ennekenya n’eteeka mu lujjudde ebikwata Ku ndagaano ezikolebwa ku kusima eby’obugagga ebyo mu ttaka, bwebiba byakuganyula bannauganda bonna.
Moses Kaggwa era agambye nti government erina obuvunaanyizibwa obw’okumanya omuwendo gw’eby’obugagga ebyo mu ttaka ebisimibwa, obungi bwabyo n’ebifo byonna gyebisimibwa.
David Sssbagala omukuggu okuva mu Ministry y’eby’obugaga ebyo mu ttaka asabye wabeewo etteeka erirungamya enkozesa ya ssente eziva mu by’obugagga ezisindikibwa mu government ez’ebitundu.
Wabula Minister omubeezi ow’obugagga obyo mu ttaka Peter Aimat Lokeris agambye nti alipoota ezikolebwa ekitongole kya Uganda Extractive Industries Transparency Initiative bazesigamako nnyo okutereeza enkola y’emirimu, naasuubiza nti alipoota eno nayo bakugyekennenya amagezi agabaweereddwa okusibwa mu nkola.
Bisakiddwa: Mukasa Dodovico