Munnamateeka Jude Mbabali awandiikidde parliament ng’agirabula ku bumenyi bw’assemateeka obwakolebwa, parliament bweyakkiriza minister wa government ez’ebitundu Rafael Magyezi okukola ennongosereza mu tteeka erifuga government okwongezaayo ekisanja ky’obukiiko bw’ebyalo obwa LC1 ne LC2 okumala ebbanga eddala lya myezi emirala 6.
Obukiiko bwebyalo buno bwali bwagwako ngennaku z’omwezi 10 July 2023.
Oluvanyuma lwa government okutegeeza eggwanga nti terina nsimbi eziteekateeka okulonda kuno ,ng’ennaku z’omwezi 25 July,2023 minister wa government ezebitundu Rafael Magyezi ,yagenda mu parliament neesaba olukusa okuyita mu kiwandiiko ekimanyiddwanga statutory instrument ,ayongezeeyo ekisanja kyobukiiko bwebyalo buno okumala ebbanga lyamyezi 6 nga bweyetegeka.
Parliament wakati mu kusika omuguwa okuva eri abooludda oluvuganya government nabaNRM, okusaba kwa government kuno kwayisibwa,minister Rafael nakkirizibwa okukola ennongosereza mu tteeka erifuga government ezebitundu ,okwongezaayo ekisanja kyobukiiko bw’ebyalo.
Munnamateeka Jude Mbabali mu bbaluwa gyawandiikidde sipiika wa parliament Anita Annet Among, agiwaddeko ssabawolereza wa government Kiryoowa Kiwanuka n’akulira oludda oluvuganya government mu parliament Owek Mathias Mpuuga Nsamba,n’abannyonyola nti ekyakolebwa kwali kumenya ssemateeka w’eggwanga.
Jude Mbabali agambye nti ssemateeka w’eggwanga obuyinza bwokubaga amateeka yabusa mu muvunaanyizibwa bwa parliament yokka.
Agambye nti obuyinza buno parliament tekkirizibwa yadde okubugabanyako n’omuntu yadde ekitongole kyonna ekirala, kale nti ekyakolebwa okuwa minister Rafael Magyezi obuyinza okukola ennongosereza mu tteeka erifuga government ez’ebitundu, kyattattana n’okumenya ssemateeka w’eggwanga lino.
Munnamateeka Jude Mbabali asabye parliament nti okwewala okumenya ssemateeka w’eggwanga okwakolebwa parliament, nti ekomyewo ekiwandiiko kya minsiter Rafael Magyezi ki Statutory Instrument ,kisazibweemu emitendera emituufu gigobererwe.
Mulimu ekya parliament yennyini okukola ennongosereza mu tteeka erifuga government ez’ebitundu okwongerayo ekisanja ky’obukiiko bw’ebyalo.
Jude Mbabali era awabudde parliament etteeka akazito ku government enoonye ensimbi ezetaagibwa okuteekateeka okulonda kw’obubiiko bw’ebyalo okwewala obumenyi bwa ssemateeka w’eggwanga obwakolebwa#