Eyaliko president w’ekibiina kya FDC Rtd Col Dr Kiiza Besigye agugumbudde akakiiko k’abakadde era abebuzibwako mu kibiina kya FDC, olw’alipoota gyekakola ku mivuyo egiri mukibiina kya FDC gy’agamba nti yali yakiboggwe.
Okusinziira ku alipoota eyakolebwa akakiiko kano, ensimbi ezigambibwa okutabula ekibiina z’ava mu nsawo ya Ssabawandiisi w’ekibiina Nandala Mafaabi, era nti yeyawola ekibiina ensimbi z’ekyeyambisa mu kalulu akaaliwo mu 2023.
Akakiiko kaagamba nti Abalumbagana Nandala ne president w’ekibiina Patrick Amuriat bakikola lwa byabufuzi.
Ng’ayogerako eri banamawulire ku office ze ezisangibwa ku Katonga Road mu Kampala, Col.Dr. Kiiza Besigye alumiriza nti ensimbi ezo tezaava mu makubo matuufu.
Annyonyodde nti naye yafuna ensimbi obukadde 300 okuva ewa Ssabawandiisi w’ekibiina Nandala Mafaabi ng’amusaba okuzimuterekera ku ssaawa nnya ez’ekiro okwewonya abakozi mu kitongole ekiwooza ky’omusolo abaamuli obubi, nti wabula n’azigaana.
Besigye era ategezeza nti yafunamu okwekengera okusinziira ku nsimbi ezamuwebwa wabula ensondaze enkessi era zamutegeeza, nti ne President w’ekibiina yenyini Eng Patrick Amuriat Oboi naye yafuna obukadde 280, era bweyamukubira Eng Amuriat naye yakiriza nti ensimbi kituufu yali azifunye.
Dr.Besigye abadde omukaawu okukira omususa ng’azze n’ebiyengeyeenge, agugumbudde akakiiko k’abakadde olw’okukola omulimu ng’abasasule nebalemwa okwoleka amazima ku nsonga zino.
Besigye agambye nti kimukwasa ennaku okulaba ng’enkyukakyuka zebalwaniridde okumala ekiseera okuba nti waliwo abantu abatandise okugifuula ey’obusuubuzi.
Besigye agambye nti abadde asirikidde ebbanga nga bwafuba okugonjoola ensonga zino mu kasirise, wabula abakwatibwako ensonga bayitirizza okuzesemba awatali nsonga n’ambulukufu.
Gyebuvuddeko abamu ku bannakibiina kya FDC abakulembeddwamu omwogezi w’ekibiina Ssemujju Nganda n’omumyuka wa president wa FDC atwala Buganda Erias Lukwago, n’abalala baalumiriza ssabawandiisi Nandala Mafaabi ne president Patrick Amuriat okukuta ne NRM n’ekigendererwa eky’okutunda FDC.
Balumiriza nti n’ensimbi ezavuggirira Amuriat okuvuganya ku bwa president bw’eggwanga mu kalulu ka 2021, zabawebwa NRM okukendeeza ku maanyi g’oludda oluvuganya.
Wabula Nandala ne Amuriat byonna ebiboogerwako baabyegaana.#