Akakiiko akakulira ebyókulonda mu kibiina kya NRM kalabudde ababaka ba government mu bitundu okukomya okweyingiza mu nsonga zeby’ókulonda zonna.
Kigambibwa nti abamu kuba RDC befuula abatebenkeza emirembe sso nga balina oludda lwebawagira ekivaako obuvuyo obuzze bulabikira mu kulonda okwókujjuza ebifo eby’enjawulo mu bitundu by’e ggwanga ebitali bimu.
Gyebuvuddeko akakiiko akakulira okulwanyisa obukenuzi mu maka góbwa President aka State House Anti-Corruption Unit kaakwata era nekaggalira Omubaka wa government mu District ye Bukedea Wilberforce Tukei, saako omuduumizi wa Police mu District eno Sp Charles Okoto olwe mivuyo egyeyolekera mu kulonda kwókuddamu okujjuza ekifo ekya Sentebe wa District eno.
Sentebe wa kakiiko ake’byókuloda mu Kibiina kya NRM Dr Tang Odoi bwabadde ayanjula abamu kunannakibiina kino abesowoddeyo okukwatira NRM bendera mu kulonda kwókuddamu okujjuza ekifo kya Sentebe wa District ye Hoima, agambye nti ekibiina tekikyetaaga babyakwerinda mu kulonda okuggyako nga bayitiddwa.
Dr Tanga Odoi era alabudde banna kibiina kya NRM mu District ye Hoima abatandise okukuta ne bannabyabufuzi ku ludda oluvuganya nébigendererwa ebyókutabangula akamyufu kabwe.
Bannakibiina kya NRM 7 bebakesowolayo okuvuganya mu kamyuufu kano akategekeddwa okubaawo nga 25th August,nga okulonda kwabonna okwókujjusa ekifo kino kwakubaawo nga ,14th September,2023.
Mu kiseera kino entebe ya district ye Hoima nkalu, olwa ssentebe eyaliko okugwa ku kabenje naafa.
Bisakiddwa: Ssebuliba William