Entiisa egudde mu town council eye Kayabwe mu district ye Mpigi, omusajja enzaalwa y’eggwanga lya Israel asse mukaziwe oluvannyuma lw’okukebeza abaana be endaga butonde n’asanga ng’abaana babiri sibabe.
Olumaze okumutta omulambo agusudde mu kinnya kya kazambi.
Bino biri ku kyalo Kalagala Kituzi Kayabwe ward, Raed Wated y’attidde mukyalawe Nalubega Gorret enzaalwa ye Lwengo.
Bino okubaawo Omupalastine yakutte abaana bombi ow’emyaka 5 n’emyezi 7, n’abatwala n’abakebeza endaga butonde nti ebyavuddeyo nebiraga ng’abaana sibabe.
Nalubega abadde yanoba okuva ew’omusajja ono oluvannyuma lw’okufuna obutakkaanya.Nga wayise ekiseera omusajja yakubira ab’oluganda lw’omusajja n’abategeeza nti ayagala mukyala we adde mu bufumbo.
Kigambibwa nti okuva olwo Nalubega abadde etera okudda ew’omusajja okumala ekiseera oluvannyuma n’addayo ewabwe.
Wabula ku mulundi guno teyasobodde kusimattuka, omusajja yamusse omulambo n’agusuula mu kinnya kya kazambi.
Akulira eby’okwerinda mu kitundu Mwogezi Steven agambye nti munnansi wa Israel ono abadde yakamala mu kitundu emyaka 5.
Yali yajja nga Engineer w’enguudo mu kampuni ya RCC construction company, wabula n’egula ettaka e Mpigi gy’abadde yazimba ennyumba n’afuuka omutuuze.
Omu Israel ono akkiriza nti yasse Nalubega, ng’amulanga okubaligira mu bufumbo n’azaala n’abaana b’omusajja omulala, ekintu ky’agambye nti kivve nnyo mu buwangwa bwe mu ggwanga gyava erya Palastine.
Ab’obuyinza basobodde okugwa ku mulambo gw’omukyala, oluvannyuma lw’omusajja okukubira ab’obuyinza n’aboluganda lwa Nalubega ng’anategeeza nti yabadde abuze.
Baasitukiddemu okutandika okulanga, wabula bagenze omutuuka mu maka gabwe basanze mujjudde ekibundu, nga n’omusajja abadde alina ettaka lyayoola okubikka ekinnya ekibadde kivaamu ekivundu.
Awo webagwiridde ku kinnya omubadde omulambo gwa Nalubega Gorret, yamutta ennaku bbiri eziyise.
Bisakiddwa: Sserugo Patrick