Entiisa ebutikidde abatuuze ku kyalo Kyabbaale mu district ye Kasanda, abatuuze bwebakedde okugwa ku mulambo gwamunabwe ng’attiddwa mu bukambwe n’emmotoka gy’abadde avuga nebakuuliita nayo
Atidwa ategerekeseeko limu lya Onen nga ono omulimu gwakola abadde ne motooka esomba ebintu mu kitundu omuli Amanda,omusenyi nebirala
Abatemu bamupangisizza ku saawa 11 ezókumakya nga bamugye Kyakatebe abasombere Amanda, bwebamutuusizza mu kabira nebamwefuulira nebamutta emmotoka bagitutte.#