Akabenje ka Bus akalala akagudde e Wakisaanyi ku luguudo oluva e Kampala okudda e Gulu, Bus ya kampuni ya Crown Coaches bweyingiridde ekimmotoka ekibadde kikwamye ku luguudo!
Bus number UAQ 409D eyingiridde UAN 902 Fuso, omusaabaze abadde atudde mu Bus mu maaso n’akosebwa bya nsusso!
Akoseddwa addusiddwa mu ddwaliro e Kiryandongo.
Police egamba nti ensibuko y’obubenje obw’engeri eno buva ku bagoba abavugisa ekimama n’obulagajjavu bwabannannyini mmotoka ezikkwama ku nguudo nebatassaawo bubonero bulabika.
Omwogezi wa police y’ebidduka Michael Kananula, awadde abagoba b’ebidduka amagezi okufaayo ku misinde emituufu gyebateekeddwa okuddukirako n’okubeera abeegendereza ku nguudo.
Eggulo waabaddewo akabenje akafaananako nga kano akaagudde e Mukunyu mu bitondu by’e Kyenjojo, omugoba wa Bus ya Link n’afiirawo mbulaga n’abalala 8 nebagenda n’ebisago eby’amaanyi.#