Abantu 34 bakwatiddwa mu district ye Ntoroko ku Kyalo Kisege, bateeberezebwa okubeera n’akakwate ku bayeekera ba ADF.
Abakwate bano tebasangiddwa na biboogerako byonna, era nga okukwatibwa kyaddiridde abantu babuligyo okubalonkoma mu b’obuyinza.
Ebyalo okuli Nyamweya ne Muhwezi nayo kigambibwa nti ab’ebyokwerinda bongedde okuyibwayo, okulondoola abantu abatamanyiddwa mu bitundu ebyo abogerwaako nti basusse obungi.
Omwogezi wa police mu ggwanga Fred Enanga , agambye nti ab’ebyokwerinda baliko ekibaluwa ki kiro kitwala omunaku kyebaazudde nga kisuuliddwa mu kitundu, nga kirabula ku bulumbaganyi obuyinza okukolebwa ku masomero, n’obubuga obwenjawulo mu district ye Ntoroko n’emiriraano.
Bisakiddwa: Kato Denis