Police mu district ye Kannungu ekutte taata n’emuggalira ku bigambibwa nti asse mutabani we ow’emyaka 10, lwa shs 500.
Akwatiddwa ye Agaba Onacklet myaka 46 nga kigambibwa nti omwana gwasse ye Ivan Nuwagaba ng’abadde asoma ku Karuhinda primary school.
Agaba mutuuze ku kyalo Kazirankye Northern ward Kanungu town council.
Omwogezi wa police mu kitundu Elly Maate agambye nti ettemu lino lyaliwo nga 28 June ,2023.
Kigambibwa nti taata yatuma mutabani we sigala wa shs 1000, wabula omwana yagulako wa shs 500, ezaasigalawo n’azitwala.
Kino kyanyiiza taata n’agezaako okukwata omwana amukube nadduka, era okuva olwo buli lwabadde amulaba ng’amudduka, wabula n’amulabula nti kaanamukwatako abadde wakumutusaako obulabe.
Kigambibwa nti Taata yagwikirizza omwana ng’ali yekkaku kyalo Kanyangyende n’amutuga, bweyamaze namuwanika ku muti gw’omuyembe okubuzaabuza obujulizi, kirabike nga nti omwana yeyetuze so ng’amagulu gasigadde gayimiridde bulungi ku ttaka nga n’omuguwa simunywevu.
Ssentebe w’ekitundu Hellen Ayebare ategeezezza police etuuse neyekebejja embeera yonna, ekiddiridde kukwata taata w’omwana nga n’okunoonyereza bwekugenda mu maaso.
Bisakiddwa: Mukasa Dodovico