Kkooti enkulu etaawulula enkayana mu maka eragidde abaana b’omugenzi eyali omulamuzi wa kooti ensukkulumu Stella Arach, okuteesaganya n’aboluganda lwabba okusalawo oba ng’aziikibwa mu limbo ya klezia
Bba w’omugenzi nga ye Ambassador James Idule Amoko ayanjulidde kooti ekiwandiiko, ye n’aboluganda lwe mwebakkiriziganyizza okuziika Omugenzi mu Limbo y’ekelezia y’abakatuliki mu kibuga Arua eya Arua Catholic Cathedral Cemetery.
Enjuyi mu musango guno zaapangisizza omutabaganya nga yeyaliko president w’ekibiina kya Bannamateeka Francis Gimara, era Ono y’agenda okutuula n’abaana bomugenzi okulaba oba bakkiriziganya n’ekiteeso ekisoose mu ddiiro okuva ewa bba w’omugenzi.
Omulamuzi wa kkooti enkulu etaawulula enkayana mu maka etuula e Makindye Ketrah Katunguka, alagidde enjuyi mu musango guno okudda mu kooti nga 24 June,2023 okutegeeza kkooti kyebanaaba batuseeko, nga singa balema okukkiriziganya kkooti yakugenda mu maaso n’okuwulira omusango guno.
Mu musango ogwaloopwa mu kkooti abaana bomugenzi Stella Arach Amoko bagala kkooti eyise ekiragiro ekikkiriza nnyabwe okuziikibwa mu District ye Nebbi ku biggya bya bakadde be nti kubanga bweyalaama mu bigambo.
Wabula bba w’omugenzi Ambassador James Idule Amoko ye yasoose okulemerako, nti engeri gyeyakuba empeta omugenzi ateekeddwa kuziikibwa mu maka gabwe mu district ye Adjuman.
Omulamuzi Stella Arach Amoko awezezza wiiki nnamba ng’afiiridde ku myaka 69 egy’obukulu mu ddwaliro e Nakasero.
Ng’enkayana ku kifo wanaziikibwa tezinnabalukawo, ekitongole ekiramuzi kyali kisoose kulanga nti yali wakuziikibwa mu district ye Adjuman.
Bisakiddwa: Mpagi Recoboam