Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga, asabye abakyala n’abavubuka okwenyigira mu kaweefube w’okulima emmwanyi, okulwanyisa Obwavu mu maka.
Katikkiro agambye nti ettaka lye Mawogola likyalimu obujimu okukolerako obulimi omuva ensimbi, naalabula abalagajjalira ettaka bakikomye bunnambiro.
Owomumbuga bino abyogeredde mu ggombolola ya Ssabawaali Mijwala bwabadde alabula abegassi abegattira mu Ssembabule district farmers Association ne Mateete area Cooperative society.
Katikkiro era asabye abalina obuyinza okwagaliza n’okuwagira ebibiina byobwegassi okusobola okukulakulanya abantu.
Shatsi Musherure Kutesa nga mubaka wa Mawogola North, yebazizza Katikkiro olwokukunga abantu ba kabaka okweggya mu bwavu.
Katikkiro era akwasizza abalimisa b’Obwakabaka pikipiki ku ssomero lya St Peters Mateete Church of Uganda primary school mu ssaza Mawogola.
Minister w’Ettaka n’obwegassi Owek Haji Hamis Kakomo agambye nti Obwakabaka busobodde okubangula abalimisa ku mutindo ogwetaagisa ,nga werutuukidde leero Obwakabaka buweza abalimisa 600.
Omwami wa Kabaka atwaala essaza Mawogola Muteesa Muhammad Sserwadda Ssalongo, yeeyamye okwongera okukubiriza abantu ba Kabaka okwongera okulima Emwaanyi bave mu bwavu.
Omubaka akiikirira Mawogola Gorete Namugga, alaajanidde gavumenti ku kugya Omusolo ku bikozesebwa okulima,omuli ebijimusa ,eddagala n’Okusasula abalimisa.
Minister w’abavubuka ebyemizannyo n’Okweewummuza mu Bwakabaka Owek Henry Moses Ssekabembe Kiberu, alabudde abavubuka ku bwa ssemugayaavu obusukkiridde ensangi zino, naabasaba okukuuma ettaka.
Liiza Lusaisa nga mukungu mu kitongole ky’Emwaanyi ki Uganda coffee development Authority agambye omutindo gw’emwaanyi mu Buganda gweyongedde okulinnya, olwa kaweefube assiddwawo Obwakabaka.
Abamu ku balimi b’emwanyi abakukuutivu e Mawogola nga bakulembeddwamu Bernard Lwanga Kafeero ,bagambye nti ekirooto kyebalina mu Kulima Emwaanyi kyakutandikawo ekyuma ekizikuba okugattako Omutindo.
Bisakiddwa: Kibuuka Fred ne Kato Denis