Abayizi 2 aba Mpondwe Lhubiriha secondary school ababadde baddusiddwa mu ddwaliro lye Bwera hospital okufuna obujanjabi nabo bafudde, oluvannyuma lw’okuvaamu omusaayi omungi ate ng’eddwaliro teribadde teririna musaayi.
Okusinziira ku akulira Bwera Hospital Clarence Mumbahya akulira eddwaliro lye Bwera agambye nti bafunye abakoseddwa 6, kati wasigaddewo 4 abajanjabibwa.
Agambye nti mu kiseera kino basobodde okufunawo omusaayi okuva mu ddwaliro eddala eribaliraanye erye Kagando health centre.
Omuwendo gw’abayizi ba Mpondwe Lhubiriha SS e Kasese abaakafiira mu bulumbaganyi obubakoleddwako abateeberezebwa okubeera abayeekera ba ADF guweze 39.
Sylvester Maseruka ssentebe w’egombola ye Mpondwe mu Kasese, agambye nti abayeekera bano baliko n’omutuuze omukyala n’omwana bebasse olwo omuwendo gw’abattiddwa neguwera 41.#