Omulamuzi Stella Arach Amoko abadde owa kooti ensukkulumu afiiridde ku myaka 69 egy’obukulu
Omwogezi w’essiga eddamuzi Jameson Karemani agambye nti Omulamuzi Arach afiiridde mu ddwaliro e Nakasero mu kiro, era gy’abadde ajanjabwa okumala akaseera.
Omulamuzi Stella Arach Amoko yalondebwa ku bulamuzi bwa kkooti ensukulumu mu mwaka gwa 2013.
Mu 2010 yalondebwa ku bulamuzi bwa kooti ejulirwamu.
Ekitongole ekiramuzi yakyegaatako mu mwaka gwa 1997 ng’omulamuzi wa kkooti enkulu.
Yaliko omulamuzi wa kooti y’omukago gw’amawanga ga East Africa eya East African court of Justice wakati wa 2006 – 2008.
Yasomera Makerere University n’afuna degree mu mateeka ne Law Development Centre gyeyafunira diploma, gyeyava neyegatta ku wofiisi ya ssaabawolereza wa government mu 1979.
Okuffa kwomulamuzi Stella Arach Amoko, kuguddewo nga wakayita emyezi 6 gyokka, ng’omulamuzi Rubby Opio Aweri nga naye kyaggye affe.#