Abazigu ababadde n’ebijambiya bazeemu okulumba ekyalo Kazinga Kyebando mu Nansana Municipality mu district ye Wakiso nebamrnya amayumba n’okunyagulula abantu abawerako.
Kigambibwa nti ekibinja ekirumbye kibadde kyábavubuka 20, nga batuuse nókulumba amabaala omubadde abantu nebabakanda ensimbi.
Abamu ku bantu abasimatuse ba kijambiya bano bagamba nti bakubidde police ye Nansana etuuse mu kitundu nga bukyali, naye egenze okutuuka ng’abazigu babuzeewo n’omunyago gwabwe.
Kansala atwala ekitundu kino Kasaato Cyrus agambye nti ekizibu kyebaguddeko ng’ekitundu kibadde kyantiisa n’asaba ab’ebyokwerinda okwongera obukuumi.
Ekitundu kino kye kimu, ku nkomerero yómwaka 2022 ekyalumbibwa abe bijambiya nebatemaatema abantu.
Bisakiddwa: Lukenge Sharif