Abatuuze ku kyalo Ssayi mu Gombe division Nansana municipality mu Wakiso district bavudde mu mbeera nebatta abavubuka 2 bebagwikirizza nga kigambibwa nti babadde baliko embuzi 2 zebabadde babbye.
Bino bibaddewo kiro era ng’abatiddwa tebabadde nabiboogerako, wabula batemera wakati w’emyaka 20-30.
Basangiddwa ng’embuzi bazisibye ku piki piki ekika kya TVS Reg.No.UFF 412K, babadde badda Matugga.
Kigambibwa nti bwebababuuzizza embuzi gyebaziggye nga tebaddamu, nebabasaba ebiboogerako nga tebabirina, abatuuze kwekuva mu mbeera nebabakuba emiggo egibasse.
Ssentebe we Kyalo Kino Experito Kisitu ategeezezza nti abatuuze be bali kubunkeke olwa babbi abasusse okubatigomya, wabula avumiridde ekyabatuuze abatwalidde amateeka mu ngalo era bwatyo nasaba abavubuuka okukola okusinga okwagala eby’obwereere.
Police okuva e Matugga nga ekulembeddwamu Oc Station Kasim Kakembo ezze negyawo emirambo negyitwalibwa mu gwanika lye ddwaliro e Mulago era nga poliisi etandise okunoonyereza.
Bisakiddwa: Tonny Ngabo