Government ya America eggugumbudde Uganda olwetteeka eriwera obufumbo obwekikula ekimu, president Museven lyeyataddeko omukono.
Etteeka lino, lirimu ebibonerezo ebikakali okuli eky’okuttibwa, okusibwa amayisa, okutanzibwa kavvu w’ensimbi nokusibwa emyaka egiri eyo mu 20.
Biden ewadde Uganda amagezi agatalinda,esazeemu etteeka lino bwekirema erinde ekkiddako.
President wa America Joe Biden mu kiwandiiko ekifulumiziddwa amaka gobwa president ,avumiridde etteeka lino ly’agambye nti lityoboola eddembe ly’obuntu n’okussa obulamu bw’abantu abeenyigira mu mukwano n’obufumbo buno mu bulabe obw’amaanyi
Government ya America enyonyodde nti okuva Uganda lweyatandika okubaga etteeka lino, abantu bangi abeenyigira mu bisiyaga obulamu bwabwe buli mu mattiga, bangi bawangaalira mu kwekukuma ,abalala batya okugenda mu malwaliro olwokutya okusosolebwa, okukwatibwa n’okusibibwa.
Biden agambye nti etteeka lino kikontana n’amateeka gensi yonna ageddembe lyobuntu agawa abantu okubeera n’eddembe lyabwe
President wa America Joe Biden ,asabye ekitongole Kya America ekikola ku nsonga z’obutebenkevu ki National Security Council okwetegereza obulabe bw’etteeka lino, okusalawo oba nga America esobola okugenda mu maaso n’okukolagana ne Uganda mu ngeri ezenjawulo omuli nokuvugirira enteekateeka ya PEPFAR Eno nga yeyisibwamu ensimbi ezolabirira abantu abawangaala nakawuka akaleeta mukenenya
Government ya America era erangiridde nti yakwetegereza oba Uganda oluvanyuma lw’okussa omukono ku tteeka lino, ekyasobola okugenda mu maaso n’okweyagalira mu katale ka AGOA
Government ya America era erabudde nti eyolekedde okusaawo envumbo eri abanene mu government ya Uganda obutalinnya mu ggwanga lya America
America egambye nti emyaka 60 egiyise ezze ekkolagana ne Uganda era waliwo bingi ebituukiddwako ,omuli okutumbula ebyenfuna, ebyobulamu ,ebyobusuubuzi nebirala, nga buli mwaka eteekamu ensimbi trillion 3.
Kinnajjukirwa nti amawanga gannaggwadda okuli america ,Canada ,European Union ne United Nations gaali yalabula dda Uganda obutayisa tteeka lino.#